Luke 18:1-8

Olugero lwa Nnamwandu n’Omulamuzi

1 aAwo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti, 2“Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna. 3 bMu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’

4 “Omulamuzi n’amala ebbanga ng’akyagaanyi. Naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa, 5 cnaye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’ ”

6 dAwo Mukama waffe n’agamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bw’agamba. 7 eKale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza? 8 fMbagamba nti agenda kubalamula mangu. Naye Omwana w’Omuntu, bw’alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”

Copyright information for LugEEEE